Two-day Luganda Conference at Makerere University

Event: ‘Two-day Luganda Conference’

Conferences/Workshops
Conferences and workshops held on campus
Date: Friday, June 25, 2010 At 09:00:00 AM Duration: 2 Days
Contact Info: Deo Kawalya +256-782-374210 Medadi E. Ssentanda Coordinator, Luganda Institute of Languages Faculty of Arts Makerere University P.O. Box 7062 Kampala, Uganda +256-782-333669 David Kabugo +256-782 735859 Email: kawalyad@arts.mak.ac.ugThis e-mail address is being protected from spam bots, you need JavaScript enabled to view it , lugaconf@arts.mak.ac.ugThis e-mail address is being protected from spam bots, you need JavaScript enabled to view it URL: http://arts.mak.ac.ug
This is to invite you to participate in the two-day Luganda Conference scheduled for 25th – 26th June 2010 at the Makerere University, Main Hall.

You are also invited to prepare and submit abstracts. The deadline for submission of abstracts is 18th February 2010.

See detailed Luganda version below

SSEMASOMO W’OLUGANDA

(LUGANDA CONFERENCE)

Ekitongole ky’Oluganda mu Institute of Languages, Makerere University kiteeseteese OMUSOMO SSEMASOMO ku:

OKUKULAAKULANYA OLUGANDA MU KUSOOMOOZEBWA KWA LEERO

Ennaku z’omwezi:…25 – 26 Ogwomukaaga, 2010

E Makerere University, Main Hall.

Ekigendererwa kya Conference eno kwe kwoleka okunoonyereza okukoleddwa ku Luganda n’okusalira awamu amagezi ag’okuseetula Oluganda okulutuusa ku ddaala ly’ekikugu.

Aboogezi abakulu:

  • Prof Livingstone Walusimbi, Institute of Languages, Makerere University
  • Dr. K. B. Kiingi, Department of Languages, Kampala International University
  • Mw T. L. Kakinda, Department of Language Education, School of Education, Makerere University

Okuwandiika empapula

Abandyagadde okusoma empapula mu Ssemasomo ono basabibwa okuweereza ebifunze byabwe mu bigambo ebitasukka 300.

Bannannyini bifunze ebinaaba biyiseemu bajja kutegeezebwa bagende mu maaso n’okuwandiika empapula zaabwe. Buli lupapula luliweebwa eddakiika 45: 30 za kusomeramu lupapula; 15 za kukubaganyirizaamu birowoozo ku lupapula olwo.

Ebinaayogerwako/ebinaawandiikibwako bye bino:

  1. Ensomesa y’Oluganda ku mitendera egy’enjawulo
  2. Empandiika y’Ololuganda entongole
  3. Enkozesa y’Oluganda mu bukugu obw’enjawulo
  4. Ennimi enzaaliranwa n’ebitongole by’ensi yonna
  5. Okugaziya obusomi bw’ebiwandiiko by’Oluganda
  6. Ekirala kyonna ekikwatagana n’omulamwa

Ebifunze byonna biweerezebwe ku ndagiriro eno:

Okumanya ebisingawo, tuukirira bano:

Deo Kawalya, 0782 374210

Medadi E. Ssentanda, 0782 333669

David Kabugo, 0782 735859

lugaconf@arts.mak.ac.ug

Ultimate Media

Leave a Reply

Your email address will not be published.

This site uses Akismet to reduce spam. Learn how your comment data is processed.